ENSONGA ENKULU EY’OLUBEERERA
OLUGERO LW'OMUKWANO OLW'OLUBEERERA
Katonda
yatuwa okwagala kwe okusingayo; era ekyo yakikola myaka nga 2000
egiyise. Yesu yajja kunsi, era buli kyona kye yatukolera kyalinga
kyewuunyisa; okugeza okuzaalibwa kwe, obulamu bwe, okufa kwe awamu
n’okuzuukira kwe - byonna byali bikulu nnyo. Teyawandiika kitabo kyonna,
weewawo ebitabo bingi biwaandiikiddwa nga bikwata ku bulamu bwe.
Akyuusiza obulamu bw’abantu bangi, era ekisiingayo mu byonna, omusajja
ono yatugamba nti ye mwana wa Katonda!
Yesu agamba, Nze kkubo, amazima n’obulamu; tewali alijja ewa Kitange, nga tayitidde mu nze
Yokana 14:6
Mu bulamu bwe mwalimu amanyi mangi, era ebigambo bye yayogera oba bye yakola byaakyusiza ddala obulamu bw’abantu bangi ab’enjawulo; okwawukana n’ebiagambo bingi ebyasooka okwogerebwa. Yayagalanga nnyo abaanyomebwanga mu nsi okugeza, bagenge ne bamalaaya. N’okutuusa kaakano okuyigiriza kwe kukyakoma ku bulamu bw’abantu. Tuleme kwelabira ebyamagero bye yakola: okufuula amazzi enviinyo, okuwonya ba kiggala, abazibe bamaaso zwami n’okuzuukiza abafu.
YESU YANFIIRIRA
Yesu ye yekka eyatambulira mu bulamu obutuukitidde. Erinnya lye litegeeza, "Mukama alokola," era okufa kwe ku musaalaba kwali mu nteekateeka ya Mukama ey’okutulokola. Yesu yatukuutira okubeera abalongoofu, nga Kitaawe bw’ali omulongoofu. Tuteekeddwa okwagala Katonda n’emitima gyaffe gyonna, era n’okwagala baliraanwa baffe nga ffe bwe tweyagala. Yesu yakyogera kaati nti abantu tebalina busobozi obuyinza okuzibikira oluwonko oluli wakati waffe ne Katonda. Mu mu nsonga eno tetusobola kutambulira mu bisaanyizo bya Katonda; era kyetuva tutambulira mu mbeera embi bwetyo. Katonda mutukkuvu - ayagala tutambulire mu butuukirivu bwe; era tasanyukira kibi. Bayibuli egamba ekaattiriza nti empeera y’ekibi kufa. Yesu yajja asobole okuzzaawo enkolagana wakati w’omuntu ne Katonda eyayonooneka. Yesu akwagala n’okwagala okutaliiko kkomo; kyeyava awaayo byonna ku lulwo. Yeetikka omusango gw’ekibi kyo ekyali kikwawukanyizza ne Katonda.
Kubanga bwati bwe yayagala ensi, n’okuwaayo n’awaayo
Omwana we omu yekka, nti buli amukkiriza aleme okubula wabula abe
n’Obulamu omutaggwawo.
Yokaana 3:16
NTEEKEDDWA OKUSALAWO OKUBEERA NE KATONDA
Ku lunaku olw’okusatu, Katonda yazuukiza omwana we Yesu okuva mu bafu; era okuyita mu kuzuukira kwe, okufa kwawangulirwa ddala. Olwokuba nti yazuukira, yeekakasa okuba omwana wa Katonda. Mulamu nate era osobola okumanya.Katonda ayagala oddemu obeere n’enkolagana naye. Yesu ayagala okujja mu bulamu bwo, akusonyiwe ebibi byo era akuwe obulamu obutaggwawo. Bw’oba ng’oyagala kino akikukolere mu bulamu bwo, era akufuule omwana wa Katonda, saba Katonda kaakano: Katonda ayagala okuzzaawo enkolagana ye wamu naawe. Yesu ayagala kujja mu bulamu bwo, akusonyiwe ebibi era akuwe obulamu obutaggwawo.
Bw’oba ng’oyagala akuwe obulamu buno, akufuule omwana wa Katonda, saba esaala eno kaakano:
Yesu, nzikiriza nti oli Mwana wa Katonda. Nzikiriza nti wan irira kulw’ebibi byange. Nkusaba onsonyiwe ebibi byange, era ojje oyingire mu mutima gwange. Nzikiriza nti wazuukira mu bafu era oli mulamu natte. Nkukkiriza okuba Mukama era Omulokozi w’Obulamu bwange. Naakugobereranga ebiro byange byonna; Amiina
1. Okusaba: Yogeranga ne Katonda buli lunaku, kusaba kwo n’okusinza Omutonzi.
2. Baibuli: Soma ekigambo kya Katonda buli lunaku osobole okumanya Yesu Kristo ono gw’oyatudde oku ba omulokozi wo.
3. Ekkanisa: Funayo ekkanisa eneekusobozesa oku manya Kristo obulungi ennyo.
Datum: 25.05.2015